Akakiiko ka parliament akebyamateeka akekeneenya ebbago ly’etteeka erigenderereddwamu okulwanyisa omuze gw’omukwano ogw’ebikukujju kaweereddwa nsalesale wa Tuesday wiiki ejja, okwanjula alipoota eyavudde mu kwekeneenya ebbago lino.
Robinah Rwakoojo Ssentebbe w’akakiiko kano agambye nti balina okutuukiriza nsalesale eyabaweereddwa, era akakiiko kalina ne mu ggandaalo lya wiiki okusisinkana abantu bebalina okusisinkana okufuna ebirowoozo byabwe.
Amateeka agalungamya entambuza y’emirimu mu parliament, galambika ennaku 45 okuba ng’akakiiko kabeera kamalirizza okwanjula ebbago eribeera likaweereddwa.
Ebbago eryogerwako li Anti Homosexuality bill lyasindiikibwa eri akakiiko Kano ng’ennaku z’omwezi 9 march,2023.
Robinah Rwakoojo bwabuuziddwa ekibaleetedde etteeka lino okulyanguya agambye nti nsalesale sipiika gweyabawa, era balina okumutuukiriza.
Mu ngeri yeemu sipiika Anita Among yalabudde ababaka nti tebetantala okwebulankanya mu parliament wiiki ejja, ebbago lino lwerigenda okuyisibwa.#