Abaana babiri ab’omutuuze Ssevume Yuda ku kyalo Kasenyi mu town council ye Kigangazzi e Bukomansimbi bagudde mu luzzi nebafiiramu.
Abaana bano kuliko ow’emyaka 12 ne 10 nga babadde bagenze kukima mazzi ag’okukozesa ewaka.
Kiteeberezebwa nti ekiti kwebafukamira okusena amazzi mu luzzi kimenyese nebebbikamu.
Ssalongo Kawuma Yasin ssentebe wa Kigangazzi town council e Bukomansimbi agambye nti Bukomansimbi erina ekizibu ky’enzizi eziwagiddwako ebiti ebiteeka abaana mu katyabaga, naddala mu gombolola ye Kigangazzi
Bigasa ne Kitanda.#