Ekkanisa ya Uganda erangiridde nga bwegenda okujira ng’egaddewo amasomero gaayo agatudde ku ttaka lyayo erye Nakanyonyi e Mukono mu Kyaggwe, okutuusa nga government evuddeyo n’eddagala eryenkomeredde ku nkayaana eziri ku ttaka lino.
Ekanisa okusalawo bweti kivudde ku balumbaganyi okuddamu okulumba ebintu by’e kanisa nebabyonoonayonoona.
Wabadde wakayita wiiki emu ng’abalumbaganyi bebamu balumbye ettendekero ly’ababuulizi eriri mu ttaka lye limu, nebakuba ababuulizi nebabalumya.
Ku mulundi guno abalumbaganyi balumbye ku luuyi okuli amasomero Nakanyonyi secondary ne primary awamu n’ekkolero ly’obulabirizi eryengatto n’engoye nebakoona ekizimbe.
Abakuumi abawanddagazza amasasi mu bbanga bebataasizza ku mbeera.
Abaana abawala abakola mu kkolero ly’engato bagamba nti basuze ku tebuukye olw’embeera ebaddewo, era abamu bagala babate bagire nga baddayo mu bakadde babwe okutuusa ng’embeera ezze mu nteeko.
Olw’ebikolwa bino ebyobulumbaganyi omuwandiisi w’obulabirizi canon John Ssebudde agambye nti beraliikiridde olw’embeera eno, kwekusalawo okuggala amasomero gonna agali ku ttaka lino kuba tebakyasobola kukuuma bayizi, nga baagala government egonjoole ensonga zino.
Puliida w’abatuuze abakakasa nti baagula ebibanja ku ttaka lino Jackson Ntwatwa agambye nti okumalawo ebizibu n’obutakkaanya ku ttaka lino, ekanisa erina okukkiriza okutuula n’abatuuze ku meeza emu bagonjole ensonga.
Bisakiddwa: Majorine Kiita Mpanga