Abatuuze n’abasuubuzi abakozesa oluguudo olugenda e Kagongo mu gombolola ya Ssaabagabo Ngogwe mu district ye Buikwe bafunye ku buweerero, oluguudo lwabwe olubadde lumaze emyaka n’ebisiibo nga teruyitikamu lukoleddwa.
Ssekitooleko Henry akiikirira Luboongo era sipiika w’e Ngogwe agambye balina essuubi nti kati oluguudo luno lwakwongera okusikiriza abasuubuzi okuggya mu kitundu kyabwe.
Agambye nti balina abalimi n’abalunzi ab’amaanyi mu kitundu, wabula babadde bakaluubizibwa okutuuka ku faamu zabwe, nga n’abasuubuzi abagendayo babadde babadondola olw’oluguudo olubadde mu mbeera embi ennyo.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher