Abantu babiri nga ba kanyama bakubiddwa abatuuze nebafiirawo, babasanze ku ttaka eririko enkaayana.
Ettemu lino libadde Busukuma mu district ye Wakiso, ku ttaka ly’Omutuuze Kiwanuka Ben agambibwa okugugulana ne mutuuze munne Ambrose Aliikiriza okuva mu mwaka gwa 2001.
Police eyitiddwa bukubirire okutaasa embeera ,kyokka wetuukidde nga bakanyama babiri abatannamanyibwa mannya bafu bajjo.
Abantu babiri okuli Damulira John Bosco ne Anguyo Alex bakwatiddwa police bagiyambeko mu kunoonyereza.
Omumyuka w’omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire anenyezza abantu okutwalira amateeka mu ngalo, n’obutawa biragiro bya kkooti kitiibwa, nti kyekiviiriddeko enjuyi ebbiri okulwanagana nemufiiramu n’abantu.
Emirambo ebiri gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e kkulu e Mulago ,ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis