Abazadde abalina abaana abali wansi w’emyaka etaano mu muluka gwe Nabusanke mu district ye Mpigi beraliikirivu olw’abaana babwe okukwatibwa obulwadde bw’amambulugga (mumps), gabalrmesezza n’okugenda ku ssomero.
Abaana abasinga mu kitundu ekyo basiiba basibiddwamu entula mu bulago n’okubasiiga ku matama n’ensingo amaduudu n’enziro ekolokotebwa ku sseffuliya.
Ssentebe w’omuluka gwe Nabusanke Mpoza Alex abakanye ne kawefube w’okutalaaga ekitundu ng’akubiriza abazadde okutwala abaana bano mu malwaliro bafune obujanjabi obusingawo.
Gyebuvudeko abaana mu kitundu kino kye kimu babadde batawanyizibwa bulwadde bwa nnamusuba ate kati mambulugga.
Obulwadde buno obw’amambulugga bulabiddwako mu bitundu bya district ezikunukkiriza mu 20 okuva mu mwezi gwa August 2022, okuli Kampala, Wakiso, Masaka, Kyenjojo, Serere, Agago, Mukono n
Omwana akwatiddwa amambulugga azimba wansi w’akalevu n’amatama, ayinza okufuna ne ssenyiga, omusujja, okulumwa omutwe, enyingo n’obutaagala kulya.
Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu, amambulugga bwe bumu ku bulwadde obuteekeddwa okugemebwa mu baana abatanaweza myaka 5.
Omwana akwatiddwa amambulugga geyoleka wakati wa wiiki 1 – 2 ng’alumbiddwa a
Bisakiddwa: Yoweri Musisi