Obwakabaka bwa Buganda bukoze endagaano n’ekitongole kya Buladde Medical Research Institute egendereddwamu okutumbula ebyobulamu mu bantu ba Kabaka.
Mu ndagaano eno mulimu okizimba amalwaliro agawera mu Buganda, nga bakutandika n’okuzimba ekkeberero ly’omusaayi e Kasangati mu Kyaddondo.
Okulwanyisa endwadde ezitawaanya abantu ba Kabaka, okuyita mu kunoonyereza ku ddagala eryenjawulo, okusomesa abantu ba Kabaka ku nnwanyisa y’endwadde n’ebirala.
Minister w’eby’obulamu mu Buganda Owek.Prosperous Nankindu Kavuma yataddeko omukono ku lw’Obwakabaka, ate Prof. Moses Lutaakome ku lwa Buladde Medical Research Institute ku mukolo oguyindidde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde abantu ba Kabaka amagezi okukomya okwejjanjaba nga tebakebereddwa kuzuula kituufu kibaluma.
Katikkiro Mayiga mu ngeri yeemu asabye abantu ba Ssaabasajja okwettanira dduyiro bayambibweko okukendeeza endwadde ez’andibalumbye.
Mu mbeera yeemu Katikkiro alangiridde nti baakuggulawo eddwaliro erisooka mu mukago guno mu December w’omwaka guno e Nsangi, n’asaba bannamukago okugukuuma ng’ensonga enkulu.
Dr. Ruth Kizza omu ku bakugu ba Buladde Medical Research Institute asabye abantu okussa obwesige mu kitongole kyabwe, era babawagire olwo nabo babawe obujjanjabi obwomulembe, mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen
Ebifaananyi: MK Musa