Ebyuma by’oluguudo lw’eggaali y’omukka ebibalirirwamu obuwumbi 13 n’obukadde 490 byebyabbibwa mu mwaka gwebyensimbi 2021/2022.
Ebyuma ebyabbibwa biri 2,696, era nga kampuni ezisaanuusa ebyuma bya steel kigambibwa zezaabyekomya.
Bino bifulumidde mu alipoota envanyuma ekoleddwa ssabalondoozi w’ebitabo bya government John Muwanga eyomwaka 2021/2022.
Ssaabalondozi wa government agamba nti waliwo kampuni bbiri ezaawawabirwa mu kkooti olw’okubba ebyuma ebyo, wabula ekyennaku ate ekitongole ekivunabyizibwa ku ggaali y’omukka kyateeseganya nazo wabweru wa kkooti, neziriwa obukadde 735 bwokka ku buwumbi 13 obubalirirwa mu byuma ebyo.
Mu mbeera yeemu ,ssabalondoozi webitabbo bya gavument akizudde nti my myezi 4 gyokka wakati wa August ne December omwaka 2022, tower za line zamasanyalaze eziwerera ddala 255 zezaayonenebwa abatamanya ngamba,ababbako ebyuma nebagiguza kampuni ezisaanuusa ebyuma.
Alipoota eno enyonyodde nti olwomuze gwokwonoona line,tower nebikondo byamasanyalaze ogweyongedde mu myaka 2 egiyise , ekitongole ekitambuza amasanyalaze ki Uganda Electricity Transmission company limited,kyakusaasaanya obuwumbi 16 okuzaawo ebikondo ne line zamasantaze ebize byonoonebwa
Alipoota eno ejjidde mu kiseera nga government okuyita mu bitongole byebyokwerinda eyagala amaggye gegaba gakuuma line z’amasanyalaze naddala ezitwala amasanyalaze agamaanyi ,okwanganga abonoona ebyuma ebyo.
Mu ngeri yeemu abantu abanaasangibwanga n’ebyuma bya government mu bumenyi bw’amateeka bakuggulwangako emisango gya butujju.#