President Yoweri Kaguta Museven y’alindiriddwa okusalawo ekiddako,oluvannyuma lwa parliament ya Uganda eye 11 okuggya obwesige mu minister omubeezi ow’ettaka Persis Namuganza.
Namuganza baamulanze kukozesa bubi office nawaayo ettaka lya government erye Nakawa Naggulu eri bamusigansimbi nga tagoberedde mateeka, saako okuyisa olugaayu mu parliament.
Ku babaka 356 abakubye akalulu oba Namuganza agobebwa oba nedda, 348 basazeewo afuumulwe, 5 bagambye nedda ate 3 basazeewo kubeera ba nampawengwa.
Ba minister abo kwaliko Maj Gen. Jim Muhwezi mu mwaka gwa 1998 ate era nekwata Sam Kuteesa ku nkona mu mwaka ggwa 1999 nga yabalanga bukenuzi.
Parliament yeemu eyo 6 yawaliriza ba Minister Ali Kirunda Kivedinda(1997) ne Mathew Rukikaire(1999) okulekulira.
Ate Parliament eyo 8 yawaliriza Kabakumba Matsiko(2011), Syda Bumba(2012) ne Kiddu Makubuya(2012) okusuulawo obwa Minister.
Bano bombi baavunanibwa kukozesa bubi office zabwe.
Bikungaanyiziddwa: Lukyamuzi Joseph