Ekibiina kya NUP kiriko abakulembeze b’ekibiina 5 okuva mu bendobendo ly’e Busoga bekiyimirizza era bekiragidde banonyerezebweko olw’okwenyigira mu ntalo n’enkayana ,zebagamba nti zikosezza amaanyi nókuttattana erinnya lyékibiina mu bantu.
Abayimiriziddwa kuliko Bigirwa Moses amyuka ssabakunzi w’ekibiina ow’ebendobendo lye Busoga, Muwanguzi Andrew akolanga akulira obwa mwoyo bw’eggwanga mu kibiina, Bamu Lulenzi omukwanaganya w’ekibiina owa Busoga, Mukuve Lulenzi akolanga omukwanaganya w’abavubuka e Busoga ate ne Nsongambi Saulo akolanga nga ssentebe w’ekibiina e Jinja.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa obukulembeze bwékibiina kya NUP nga kiteekeddwa omukono gwa Ssaabawandiisi David Lewis Lubongoya,abakulu bagamba nti mu bbanga eryómwezi ogumu oguyise, ekibiina kyabwe mu Busoga kifuuse ekisekererwa olwábakulembeze okwelumaluma nókweyogerera amafuukuule.
Ekiwandiiko kiraze nti omukulembeze wékibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine ayimirizza abakulembeze okuli Bigirwa Moses,Muwanguzi Andrew,Bamu Lulenzi,Mukuve Ayagalaki Jamal ne Nsongambi Saulo baddeko ebbali basooke banoonyerezebweko.
Amyuka omwogezi wékibiina kya NUP mu ggwanga Alex Waisswa Mufumbiro agambye nti mu kiseera kino abayimiriziddwa ku bukulembeze tebakkirizibwa kweyita bakulembeze ba NUP ,wadde okwetaba mu nsonga yonna eyeekuusa ku kibiina kino.
Mu ngeri yeemu Mufumbiro asabye abakulembeze ba NUP okukuuma empisa n’okukozesa amakubo amatuufu okugonjoola ebizibu bye baba balina
Bisakiddwa: Sharif Lukenge