Ekisaakaate kya Nnaabagereka ekya gatonnya 2023 kitandise okubumbujja olwaleero mu butongole, ku Ssomero lya Muzza High school Kabembe Mukono mu ssaaza Kyagwe.
Okusinziira ku Ssenkulu w’ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation Andrew Adrian Mukiibi, abaana abasoba mu 500 bebawandiisiddwa okukyetabamu.
Abaana bonna bakungaanidde ku Bulange e Mengo, bus wezibasombye nga zibatwala e Mukono.
Kino kye Kisaakaate eky’omulundi ogwe 16, nga kitambulira ku mulamwa ogugamba nti ”okuttukiza obusobozi obukusike olw’okwekulakulanya”
Ekisaakaate gatonya 2023 kyetabiddwamu abaana abali wakati w’emyaka 6 ku 18, era nga kigenda kukomekerezebwa nga ennaku z’omwezi 26th omwezi guno ogwa January,2023.
Ebifaananyi: Musa Kirumira