Ttiimu y’eggwanga ey’abakazi ey’omupiira ogw’ebigere Crested Cranes, yesozze oluzannya olwakamalirizo olw’empaka za CECAFA Women Championships bw’ekubye Ethiopia goolo 1 – 0.
Empaka zino ziyndira ku FUFA Technical Center e Njeru.
Goolo ewadde Uganda obuwanguzi eteebeddwa Fazila Ikwaput mu dakiika eye 115.
Tiimu zombi zaasoose kulemagana 0 – 0 mu ddakiika 90, nemwongerwamu eddakiika endala 30 Crested Cranes mwefunidde obuwanguzi.
Burundi nayo ekubye Tanzania goolo 2 – 0.
Kakaano Uganda egenda kuttunka ne Burundi mu luzannya olwakamalirizo ku lw’omukaaga nga 11 June.
Uganda ne Burundi babadde mu kibinja kye kimu A, era Uganda yakubye Burundi goolo 4- 1.
Abamu ku bazannyi aboolesezza omutindo ku ttiimu ya Uganda olwaleero ye Sandra Nabweteme, Shamirah Nalugya, Hasifah Nasuuna, Aisha Nantongo, Daisy Nakaziro, nabalala.
Guno gwe mulundi ogusoose Uganda okutuuka ku luzannya olwakamalirizo, nga mu 2016 yakwata ekifo kya 4 ate mu 2018 ne 2019 yakwata ekifo kya kusatu.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe