Andrew Ojok Oulanyah alayiziddwa ng’omubaka wa parliament ow’ekitundu kya Omoro, azze mu bigere bya Kitaawe Jacob Oulanyah eyali sipiika wa parliament eyafa mu mwezi ogwokusatu omwaka guno 2022.
Andrew Ojok Oulanya yawangula banne abalala 6 beyali attunka nabo, yawangula nobululu 14,224.
Yaddirirwa owa NUP Simon Akech Toolit yafuna obululu 1,633,wabula NUP yategeeza nti akalulu kalimu okubbira akalulu kungi, ebikolwa ebyeffujjo ebyaaketobekamu omwali amaggye nabebyokwerinda abalala okuwamba ba agent ba booludda oluvuganya government n’ebirala.
Anita Among sipiika wa parliament, asabye omubaka ono Andrew Ojok okutambulira mu bigere bya kitaawe omugenzi, aleme kumuswaaza.
Andrew Ojok okukuba ebirayiro, awerekeddwaako jjajjaawe Mzei Nathan Okori nabooluganda lwe abalala, saako omubaka omukyala owa district ye Omoro Catherine Lamwak.
Alayiridde mu kisaawe ky’amefuga e Kololo, era sipiika Anita Among asoose kulangirira nti ekisaawe kifuuse parliament era wewabadde olutuula lwa leero.