Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Busujju lulangiridde eyaliko omuzannyi wa Express FC mukwano gwabangi, Michael Bukenya, nga omutendesi omuggya ow’essaza lino.
Micheal Bukenya yazanyirako ttiimu endala okuli Kamwokya United, UPDF, City Lads ne Police FC.
Ku mulimu guno ogw’okutendeka Busujju agenda ku myukibwa Henry Katende ne Baker Ssenabulya, Swaibu Ssebaggala mutendesi wa bakwaasi ba goolo ate Issa Sserwanja wa dduyiro.
Micheal Bukenya yetendekako ku ttiimu y’essaza Mawogola mu 2019 ne Buwekula mu 2020.
Omumyuka w’omwami w’essaza Busujju, Christopher Nsimbe, asabye bana Busujju okuwa ttiimu yabwe obuwagizi bwonna obwetagisa omwaka guno.
Busujju tewangulangako ku mpaka za masaza.
Mu mpaka z’omwaka guno yatereddwa mu kibinja C omuli Bulemeezi, Kyaggwe, Busiro, Ssese ne Bugerere.
Empaka z’omwaka guno zisuubirwa okutandika nga 25 omwezi guno ogwa June mu Buddu.
Buddu bebannantameggwa abawangula empaka ezisembyeyo eza 2021, baakuba Buwekula goolo
2 – 0 mu kisaawe e Kitende.