Omwami wa Kabaka owe ssaza Butambala Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, atongozza olukiiko olugenda okuddukanya tiimu eno,wakati mu kwetegekera empaka z’omupiira gw’amasaza ezitandika omwezi ogujja ogwa June.
Katambala Al Hajji Magala Sulaiman olukiiko luno alutongolezza ku mbuga ya Buganda enkulu e Bulange Mengo.
Prof Badru Kateregga yalondeddwa ng’omuyima wa ttiimu y’essaza Butambala.
Hajji Adam Ntale Ggolooba ye ssentebe omuggya, amyukibwa Peter Wamala Matovu ku ludda olw’emirimu, ate Godfrey Nsibirwa ye mumyuka ow’ebyekikugu.
Ttiimu manager ye Ssemindi Salim, omuwandiisi ye Kiyonga Farouk, omuwanika ye Kalule Nasser, omwogezi wa ttiimu ye Issah kimbugwe Batyayambadde owa CBS, Mutazindwa Nasif musawo wa ttiimu,Kizito Sulaiman wabyakwerinda obutebenkevu n’abawagizi ate
Lubega siraje ye mutendesi wa ttiimu.
Katambala asabye abalondeddwa okusitula ekitiibwa kya Butambala, era ssentebe Hajji Adam Ntale Ggolooba yeyamye okutuukiriza obuvunanyizibwa obumuwereddwa.
Katambala Al Hajji Magala Sulaiman olukiiko luno alwanjulidde minister w’ebyemizannyo mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, era nabakuutira okukuuma ekitiibwa ky’obwakabaka nga baddukanya ttiimu ya Butambala.
Essaza Butambala mu mpaka z’omwaka guno 2022 yateereddwa mu kibinja A omuli Buwekula, Gomba, Mawokota, Kabula ne Kkooki.
Omwaka oguwedde 2021 Butambala teyava mu kibinja.
Empaka z’amasaza ez’omwaka guno zigenda kutandika nga 25 omwezi ogujja ogwa June, 2022 mu ssaza Buddu.