Munna NRM mutabani w’omugenzi Jacob Lokori Oulanyah, Andrew Ojok Oulanyah yalangiriddwa ku buwanguzi ku kifo ky’omubaka we Omoro.
Ojok yafunye obululu 14,224, nadiririrwa mu nna NUP, Toolit Simon Akecha nobululu 1,633, Odongo Terence atalina kibiina yabadde wakusatu nobululu 532.
Owokuna yabadde munna FDC, Odongo Justin, eyafunye obululu 529, ate Onen Jimmy Walter atalina kibiina yafunye obululu 88 ne Kizza Oscar owa ANT yafunye obululu 63.
Okulonda mu Omoro tekwajjumbiddwa bulungi.Obululu 17,454 bebaalonze, obutuufu bwabadde 17,069, ate obululu 385 bwasaziddwamu.
Oludda oluvuganya government ssirumativu nebyavudde mu kalulu kano,nga lugamba kaasusse okubaamu vvulugu atagambika.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathius Mpuuga Nsamba agambye nti akakiiko k’e byokulonda bwekatatereeza ntekateeka zaako, katuuse okuzaalira eggwanga lino ebizibu n’okwenyiya bannauganda ebyokulonda.
Omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu, Dr. Livingstone Ssewanyana agambye nti kyetaagisa okuddamu okulungamya ku ntambuza yókulonda kubanga kujudemu emivuyo mingi, egimalawo obwenkanya mu kalulu.
Ssabakunzi wekibiina kya NRM, Rosemary Nansubuga Sseninde, agamba nti omulimu ogwabwe baagukoze bulungi ddala,era akalulu bakawangudde nomuwendo omunene, nga ebisigalidde ab’oludda oluvuganya byebogera police yevunanyizibwa ssi NRM.
Wabula ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama agambye nti ye abadde talabangako ku kalulu kamirembe ng’akabadde mu Omoro.
Byabakama akinogaanyizza nti akakiiko kakulembera tekavunaanyizibwa ku vvulugu eyanokoddwayo ab’oludda oluvuganya, omuli abebyokwerinda okukwata abantu babwe abaabadde bateereddwayo okukuuma akalulu kabwe.
Baanokoddeyo n’emmotoka ezaalabiddwako nga zisomba abantu nga babayiwa mu bifo ebironderwamu,nga nezimu zaabadde teziriiko namba.