Omuvubuka omwetissi w’emigugu ku Ben Kiwanuka Street mu Kampala Eric Squat asindikiddwa mu kkomera e Luzira, avunaanibwa kunywa mwenge gwa bandi natasasula.
Kigambibwa nti Squat yekatankira eccupa za beer 22 nalemererwa okuzisasula.
Omuvubuka ono wa myaka 18 asimbiddwa mu kkooti ya City Hall mu Kampala, nasomerwa omusango, wabula nagwegaana ngagamba bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo.
Okusinziira ku bujulizi obuleteddwa oludda oluwaabi, Squat ngennaku zomwezi 12th omwezi guno May 2022, yagenda ku bbaala yomutuuze Justus Niyonzima esangibwa mu Kifumbira zone mu Kampala nasabayo eccupa za beer 22 nazekatankira.
Kigambibwa nti olwazimaliriza okuzinywa yagaana okusasula bwatyo kwekugombwamu obwala.
Squat ategeezezza kkooti nti talina lunaku lwonna lwajjukira okuba nga yanywa omwenge omungi bwegutyo.
Agambye nti eccupa zoomwenge bwaba anywedde tasukka ccupa 10.
Omulamuzi Valerian Tuhimbise amusindise mu nkomyo okutuusa nga 31st omwezi guno ogwa May, ajira ajjukira ebyaliwo.