Ekitongole kyénsi yonna ekivunaanyizibwa ku butondebwensi ki World Wide Fund International kitandise kawefube w’okukuuma amazzi ga Uganda okusigala nga mayonjo okutumbula ebyobulamu by’omugigi oguliwo n’ogirijja.
Enteekateeka eno etuumiddwa Blue Heart Of Africa etongozeddwa mu mawanga ga Africa 10 okuli Uganda , South Africa, Mozambique ,Botswana, Tunisia, Moroco námalala.
Essira ligenda kussibwa kukuuma entobazi n’okusomesa abantu okwewala okuzesenzamu, nti kubanga zikola omulimu munene okusengejja amazzi negabeera mayonjo eri obulamu bw’abantu.
Mu ntekateeka yeemu ebifo ebirala omuva amazzi omuli enzizi, némigga nabyo byakulondoolwa, era ng’abakulembeze ku byalo bakukwata omumuli gw’okukubiriza abantu okuzikuuma.
Akulira kaweefube wÓkutumbula amazzi amayonjo mu World Wide Fund International Stuart Orr, ategeezezza nti bamaze okukwatagana ne government yaakuno wamu nábantu kinoomu abalwanirira obutondebwensi , okuggusa omulimu guno mu bwangu ddala.
David Duli nga ye ssenkulu wékitongole ki World Wide Fund for Nature Uganda, asabye government okwongera amaanyi mu kulungamya bannansi n’okukwasisa amateeka eri abasanyaawo entobazzi, abazimba ku mbalama zénnyanja némigga kko naabo abalina ebyaapa mu ntobazzi balungamizibwe ekimala, ensi eddewo mu butonde bwayo.
Mungeri yeemu Ritah Ategeka omwogezi wékitongole ki World Wide Fund for Nature Uganda asabye abakulembeze ku mitendera egyenjawulo babeere basaale mu kutumbula obuyonjo bwámazzi ,nga bakola bulungibwansi n’okusomesa abantu obutasenga n’okukolera omulimu gwonna mu ntobazi.
Ku ntandikwa ya wiiki eno ekitongole ekikola ku butonde bwensi ekya NEMA kyasanyaawo emisiri gy’ebirime ebyali bisimbiddwa mu ntobazi mu bitundu by’e Mityana.
NEMA egamba nti ku ntandikwa y’omuggalo ovwa Covid 19 abantu abo baalabulwa obutalimira mu ntobazi, wabula nebatafaayo.
Alipoota ziraga nti bannauganda abasoba mu bukadde munaana, amazzi gebakozesa mu bulamu obwa bulijjo bakyafu.
Bisakiddwa: Kato Denis Luwandagga