Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aggaddewo olusirika lw’abavubuka mu Buganda, lumaze ennaku bbiri nga luyindira ku Maria Flo mu Masaka City.
Olusirika luno lwategekeddwa aba Buganda Youth Council, lwetabiddwamu abavubuka abavudde mu masaza ga Buganda.
Lugendereddwamu okukuba tooci mu mabago gonna agakoleddwa okulambika abavubuka mu nkola y’emirimu.
Katikkiro agambye nti abavubuka balina okweggyamu endowooza y’okulindirira okuwebwa obuwebwa buli kimu, wabula berwaneko okubaako kyebekolera n’amaanyi gabwe.
Katikkiro akubirizza abavubuka obutesembereza muze gwa kusabiriza, nti kubanga kiwebuula obuvubuka bwabwe.
Katikkiro Mayiga abavubuka abawadde amagezi bewale obwa ssemugayaavu, buli mulimu gwebakwatako engalo bagukole n’amaanyi gabwe gonna, bafuuke abantu ab’amaanyi mu ggwanga nga bakulira ebitongole ebitali bimu.
Minister w’abavubuka emizannyo n’okwewummuzaamu Henry Ssekabembe Kiberu agambye nti ttabamiruka ono wakuyamba buli muvubuika ali mu Buganda, nasaba ababadde mulusirika okugenda okusomesa bannabwe ebibaddemu.
Ssentebe wa Buganda Youth Council Baker Ssejjengo yebazizza Katikiro okubawagiranga mu buli nteekateeka zabwe, neyeyama okutekesa mu nkola ebisaliddwawo, naamutegeeza nti abavubuka batadde essira kukulima emmwanyi okulwanyisa obwavu.
Abavubuka bano baliko ebiteeao 9 byebayisizza mu lusirika lwabwe, bisomeddwa Omulangira Ssuuna Luutu.
Bisakiddwa: Male John