Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza emirimu amatendo egyakolebwa eyaliko katikkiro Omugenzi Martin Luther Nsibirwa olw’omukululo gweyakola ku mutindo gw’ebyenjigiriza mu nsi yonna, bweyawaayo ettaka okutudde Makerere University ebangudde obukadde n’obukadde bw’abantu.
Katikkiro Mayiga abadde mu musomo ogwenjawulo ogwategekeddwa okujjukira Martin Luther Nsibirwa, nga Makerere University ejaguza emyaka 100 bukyanja etandikibwawo.
Owek Mayiga alaze obuvumu n’ekitiibwa omugenzi Martin Luther Nsibirwa byeyayolesa olwokuwagira eby’enjigiriza mu Uganda , Africa n’ensi yonna, kyagambye nti kigenda kujjukirwa emirembe n’emirembe.
Rhoda Kalema Nalwejje Nakibuuka agambye nti Obulamu bwa kitaawe n’Okutuusa leero gwafuuka omutango omunene gweyawaayo eri eby’enjigiriza munsi yonna.
Vice Chancellor wa Makerere University Prof.Barnabas Nawangwe ,ayogedde ku Mugenzi Martin Luther Nsibirwa nga omuntu eyali ow’enjawulo eri ensiiye, eyawaayo ettaka mu mukwano okwagaliza bannansi okuzimba ensi yabwe nga bayita mu kuyigirizibwa, nga kino yakikolera mu mutima ogutaalimu busosoze mu ddiini yadde amawanga.
Martin Luther Nsibirwa ettaka okwazimbibwa Makerere University yaliwaayo mu 1945,wabula abantu abawerako bakiwakanya.
Martin Luther Nsibirwa yali Katikkiro wa Buganda wakati wa April 1929 – 1945. Yakubwa essasi ngáyingira mu lutikko yómutukuvu Paul e Namirembe mu kusaba okwokumakya.