Emirambo ena jegyakajjibwa mu bifunfugu bya kalina,egudde enkya ya leero ku ssaawa ng’emu mu bitundu bye Ndejje Lufuka Makindye Ssaabagabo.
Kuliko egy’abaana abato ebiri n’abasajja babiri, waliwo n’abakoseddwa baddusiddwa mu malwaliro.
Emirambo egyakagibwayo gigiddwa mu nnyumba ezibadde okumpi nekalina eno zegwiridde.
Omuwendo gw’abantu omutuufu abakafiiramu tegunnamanyika, abantu ba bulijjo ne police bakyagenda mu maaso n’okuyiikuula ewagudde kalina wennyini,okulaba oba nga mubaddemu abazimbi.
Okusoomoozebwa okukyaliwo nti bakozesa mikono tebalina mmotoka ziwetiiye.
Police y’abazinnyamooto nayo erinawo mmotoka ezikiza muliro yokka.