Police mu Kampala n’emiriraano eriko abayizi 11 okuva ku Makerere University, Makerere Business School ne Kyambogo University beekutte neggalira, ebasanze beesibye enjegere ku parliamentary Avenue.
Abayizi bano babadde balaga obutali bumativu olwébbeyi yébintu eyekanamye, nti kyokka nga government terina kyekolawo.
Police ebayodde bakatuuka ku parliament nga besibye enjegere nebassa mu mmotoka zaayo, nebatwala ku CPS mu Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwaano Luke Oweyisigire agambye nti abayizi bano bakusimbibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe olwokwekalakaasa mu bumenyi bw’amateeka.