Obusaanyi obulya ebirime naddala kasooli buzinze district eziwerako, era nti busuubirwa okuggwawo ngénkuba etandise okutonnya.
District 12 zezaakazuulwamu obusaanyi buno, okuli Luweero, Mukono, wakiso, katakwi, Bukedea, Bugweri, Serere, Busia, Bugiri, Mityana, Kiryandongo ne Namutumba.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ministry yébyóbulimi nóbulunzi, kiraze nti obusaanyi buno buvudde ku mbeera yénkyukakyuka yóbudde, ereeteddwa ppereketya wómusana abadde yememula, era busuubirwa okufa bugwewo ngénkuba etandise.
Obusaanyi buno webugudde bulya ebirime byonna awatali kutaliza, wabula bwegutuuka ku bikoola bya kasooli bumuliira ku misinde gya waggulu.
Ministry eriko ebika byéddagala byegamba nti nabyo bisobola okukozesebwa okufuuyiira n’okutta obuwuka obwo, okuli Cypermethrin 5EC- 100-120mls nga litabulwa mu kidomola kyámazzi ekta liita 20.