Omubaka Anita Annet Among alayiziddwa nga sipiika wa parliament ya Uganda omujja, ngádda mu bigere bya Jacob Oulanyah eyavudde mu bulamu bwénsi.
Among ye mubaka omukyala owa district ye Bukedea.
Ssaabalamuzi wéggwanga Owiny Dollo yákubirizza olutuula lwa leero mu kulonda sipiika omujja, era yámulayizza.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa naye yetabye mu lutuula luno olubadde mu kisaawe e Kololo.
Among eyasimbiddwawo ekibiina kya NRM afunye obululu 401, ate Asuman Basaalirwa owa JEEMA eyasimbiddwawo oludda oluvuganya government afunye obululu 66, ate 1 kabadde kafu.
Mu ngeri yeemu Thomas Tayebwa abadde Nampala wa government mu parliament alondeddwa ng’omumyuka wa sipiika.
Tayebwa awangudde munna FDC eyaleeteddwa oludda oluvuganya gavument Okot Biteek Junior akiikirira Kyoga.
Tayebwa afunye obululu 379 Biteek nafuna 82.
Ababaka 468 bebetabye mu lutuula luno, nga Parliament yonna omugatte erimu ababaka 529.
Ngókulonda tekunatandika, erinnya lya Anita Among lyayanjuddwa omubaka omukyala owa Kakumiro era Ssaabaminister wéggwanga Robinah Nabbanja, nerisembebwa omubaka wa Ajuri county Hamson Obua era nga ye minister wébyemizannyo.
Omubaka wa Bugiri municipality Asuman Basalirwa ayanjuddwa omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathius Mpuuga Nsamba , násembebwa omubaka wa Nakawa west Joel Ssennyonyi.
Omwaka gubadde tegunawera bukyanga omukolo gwegumu gubaawo ogwókulonda sipiika wa parliament nga 24.may 2021, Jacob Oulanyah lweyalondebwa ku bwa sipiika ate Anita Annet Among nálondebwa ku bumyuka.
Jacob Oulanyah abadde mukosefukosefu okuva lweyalondebwa okutuusa nga 20 march, 2022,president Museven lweyabikidde eggwanga, nga yafiiridde Seatle mu America.