Oludda oluvuganya government mu parliament lulonze owa JEEMA Asumaan Basaalirwa era omubaka wa Bugiri Municipality okuvuganya ku kifo kya sipiika wa parliament.
JEEMA afunye obululu 49 , gwábadde avuganya naye Odur Jonathan owa Erute south afunye obululu 20.
Ababaka ba parliament enkya ku lwókutaano lwebagenda okulonda sipiika omuggya, okudda mu bigere bya Jacob Oulanyah eyavudde mu bulamu bwensi.
Mathias Mpuuga Nsamba akulira oludda oluvuganya government bwabadde ayogerako eri babaka banne, agambye nti omulundi guno tebagenda kukkiriza kubeera bawagizi buwagizi, wabula bakwenyigiramu butereevu okulaba ngómuntu wabwe awangula obwa sipiika.
Mpuuga asabye babaka banne nti mu kulonda sipiika okwaliwo mu mwaka 2021 bwewaba waaliwo ensobi eyakolebwa, kyekiseera bakozese omukisa oguliwo bagitereeze.
Mu kulonda kwa sipiika mu 2021, owóludda oluvuganya munnaFDC Ssemujju Nganda yafuna obululu 15 bokka, wadde ngóludda oluvuganya government lulina ababaka 109.
Ate ye Okot Bitek Moses Junior munna FDC era omubaka wa Kyoga ayisemu okukwatira oludda oluvuganya bendera ku kyobumyuka bwa sipiika nga tavuganyiziddwa.
Shamim Malende omubaka omukyala owa Kampala, Denis Ssekabira omubaka wa Katikamu North ne Charles Tebandeke owa Bbaale bonna basazeewo nebava mu lwokaano.
Akabondo k’ababaka ba NRM akatudde leero wali ku kisaawe e Kololo, kakkiriziganyizza n’okusalawo kwa CEC Anita Among abadde omumyuka wa sipiika abakwatire bendera ku kifo kyobwa sipiika.
Thomas Tayebwa abadde nampala wa government ababaka ba NRM gwebalonze okukwatira ekibiina kyabwe bendera ku kifo kyo bumyuka bwa sipiika olunaku olwenkya.