Ttiimu yéggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabakazi abatasukka myaka 20, ekubye South Africa goolo 1-0 mu mpaka za FIFA U20 woman World Cup qualifiers, goolo eteebeddwa Hadijah Nandago mu ddakiika eye 19.
Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende Uganda.
Omutendesi wa ttiimu ya Uganda,Ayub Khalifah Kiyingi, agambye babadde betaaga obuwanguzi bwa goolo eziwerako kyokka tekisobose kyokka nga bafunye emikisa mingi, nagamba bakufuba okwenyweza bafune obuwanguzi e South Africa mu mupiira ogw’okudingana.
Ogw’okudingana gwakubaawo nga 17 omwezi guno, anaawangula wakuzannya ne Ghana oba Zambia ku mutendera oguddako.
Ttiimu 2 zokka zezijja okuyitawo okukikirira ssemazinga Africa mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA World Cup ezinabeera e Costa Rica omwaka ogujja.
Captain Fauzia Najjemba agambye nti bagenda kutereza ebyo bye batakoze olwaleero okuwandulamu South Africa.
Abamu ku bazannye omupiira gwa leero ye Juliet Nalukenge, Daphne Nyayenga, Shakirah Nyinagahirwa, Margret Kunihira, Asia Nakibuuka, Simayiya Komuntale, Biira Naddunga, Aisha Nantongo n’abalala.