Emmisa y’okusabira Omugenzi Paapa Francis ekulembeddwamu Omubaka wa Paapa mu Uganda Ssaabasasumba Luigi Bianco mu lutikko e Lubaga, ng’ayambibwako Ssentebe w’abepisikoopi mu Uganda era nga ye musumba wa Kiyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa.

President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni akiikiriddwa omumyuka we Rtd Major Jesca Alupo era yeyetisse obubaka obukungubaga.

Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule era yasomye obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka.
Okusaba kwetabiddwako bannaddiini abenjawulo, bannabyabufuzi, n’abantu ba bulijjo bangi ddala omuli abakatuliki n’abenzikiriza endala.

Mu ngeri yeemu abantu abenjawulo, bawaddeyo obubaka bwabwe obw’okukungubaga obuwandiikiddwa mu kitabo ekyateereddwawo ku lutikko e Lubaga.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yoomu ku bawandiise mu kitabo ekyateereddwawo okuwandiikibwamu obubaka obukungubagira Paapa Francis.
Omumyuka wa sipiika wa parliament Thomas Tayebwa n’abalala.
Paapa Francis yava mu bulamu bw’ensi ku myaka 88 egy’obukulu nga 21 April,2025, agenda kuziikibwa nga 26 April,2025 mu eklezia ya St.Maria Major e Roma.