Entanda ya Buganda 2024 eweerezebwa obutereevu ku mukutu gwa CBS 88.8 ne ku mikutu gyayo gyonna egy’okumutimbagano okuli www.cbsfm.ug , You Tube CBSFM UG OFFICIAL CHANNEL ne Tik Tok CBS FM egyiddwako akawuuwo leero nga 07 October,2024.
Entanda yakubeerawo okuva ku monday okutuuka ku Fridaya, ng’amawulire g’essaawa ssatu ez’ekiro gawedde.
Program Entanda ya Buganda Nnantaggwa buwoomi eya 2024 etandikiddewo okunyumira n’okusomesa abantu ba Kabaka.
Kasagga Robert, Kasumba Juliet ne Kizito John bebasoose mu nsiike.
Bino byebibuuzo mwebamegganidde;
1. Ekibya ekiyitibwa eky’omubumbirano nga kikwatagana n’omukazi ow’olubuto, kye ki? Ekibya ekyo ky’ekibya omubeera eddagala omukyala ow’olubuto kyasooka okunywa
2. Olunaku lw’Abakadde olw’omwaka guno lwakuliziddwa mu ssaza ki? Buddu
3. Ani yali Omukama wa Tooro mu kiseera Obote weyawerera Obukulembeze bw’ennono? Sir. George Kaamulasi Lukidi III
4. Olugero: Aboogezi abangi… Batwala embwa mu katale
5. Tuwe amannya ag’obuntu aga Ssaababiito ow’e Ssanje. Paul Kalema Ssajjaluambuga.
6. Abaganda abagamba nti n’embugo ziba ne bba waazo, yaani? Kimote
7. Omulongo wa Kabaka Kimbugwe yamuwa linnya ki? Kyakulumbye
8. Okulya enkoko ebbiri bwekikozesebwa ng’ekisoko, baba bategeeza ki? Okufumbiza omuwala abasajja abasukka ku omu
9. Ku Muganda gonja alina kakwate ki n’omwana omuwere? Bamwokya nebakolokotako oluvu lwebateeka ku kkundi okulikaza
10. Olunaku lw’abakadde olw’omwaka guno lwabaddewo ddi? Nga 1 October
11. Ani yali Omugabe wa Ankole mu kiseera Obote weyawerera obukulembeze obw’ennono mu Uganda? Sir Godfrey Gasonga II
12. Olugero: Awali omuto… Omukulu tayonoona
13. Tuwe amannya ag’obuntu ag’omukulu w’ekika ky’abeddira Obutiko. Omutaka Ggunju Matia Kawere.
14. Abaganda abamanyi nti n’enseko zirina bba waazo, yaani? Bbuniza
15. Omulongo wa Kabaka Kateregga yamuwa linnya ki? Waziba
16. Okumala omuntu emmya kisoko, kitegeeza ki? Kukkakkanya muntu ssinga aba alinga aleese olw’etumbu(Omuntu eyeewanika wanika okunafuyizibwa)
17. Tuweeyo akalombolombo kamu mu kuziika omwana afiiridde mu ssanya nga takaabye. Aziikwa bakyala bokka abatakyazaala
18. Ani yali omugenyi omukulu ku lunaku lw’abakadde mu ggwanga? Omumyuka wa President Jessica Alupo
19. Milton Obote weyawerera Obukulembeze bw’ennono mu Uganda, ani yali Omukama wa Bunyoro? Sir. Tito Gafabusa Winyi II.
20. Olugero: Abagenyi makonde… Agamu gasegulira gannaago
21. Amannya ag’obuntu ag’omukulu w’ekika ky’envuma? Omutaka Mbuga Eramula Atanansi Kasirye
22. Abaganda bamanyi nti lumonde aba ne bba, tuwe erinnya lya bba lumonde. Nnamaziina
23. Omulongo wa Kabaka Ssekamaanya aweebwa linnya ki? Nnomerwa
24. Okusula e Bugerere bwekyeyambisibwa ng’ekisoko tuba teutegeeza ki? Okusulya ng’olidde emmere y’amatooke
25. Amasaz abairi omusangibwa embuga za Lubaale Mirimu, Kyaddondo ne Bulemeezi
26. Ekisoko. Okuwunya ku gwa ddyo, Okulya emmere
27. Omwezi gwa January omuganda aguyita atya? Gatonnya
28. Olugero: Akumma ebijanjaalo, Akuwonya Mbubu
29. Embuga y’essaza Butamba yavaawa okudda e Kabasanda? Kalamba.
30. Lubaale wa Baganda gwebagamba nti alagula mu Lusoga? Nnamalere
31. Ekifo Omukomazi w’ayanika embugo ze kiweebwa linnya ki? Ekyano
32. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo “enku” zetukozesa mu kufumba n’omuddo oguyitibwa kattabuteme
33. Omuganda bweyeekoona ekigere ekisajja embeera eyo agitaputa atya? Nti wandibaawo amwogerako obubi
34. Olugero: Gyotasula… Togerekerayo bibya
35. Omuzungu Bolla alina bukulu ki ku byobulimu mu Uganda? Yeyaleeta ekirime kya ppamba
36. Ekisoko, Okulumisa omuntu embwa: Okusiiga omuntu ssiriimu oba omuntu okumuleetera enkola emuzza mu bwavu
37. Tuweeyo erinya lya Kabaka eririna akakwate n’ekitonde ekyo ekiwoomere ennyo Abaganda. Nnamunswa
38. Ani yawandiika akatabo Ssiwamuto Lugero? MB Nsimbi
39. Endeku omuganda gyayita Nnabwana eba yakula etya? Yendeku ekulira ku kiryo yokka
40. Kika ki ekirina Obutaka bwakyo e Matale mu Buddu? Omutima Omusajji
41. Mu b’amasaza ga Buganda mulimu omwami akwasa Kabaka akasaale n’omusaale, yaani? Kayima (Mawokota)
42. Mu bika by’engambo mulimu gyebayita Ennyami, efaana etya? Eba yawundibwako n’enjulu
43. Omuntu gwebayita Kawakuzi yemuntu ki? Omuntu akyala n’akomawo naye ng’obugenyi abwogerako bibi byokka
44. Olugero: Balimutta jjo, tekikulobera kumusenga
45. Ekisoko: Okulinnya eddaala kitegeeza ki? Omuntu okweyongerako ku ddaala oba omutendera mu bulungi
Abamegganyi Kizito John Lukoma afunye obugoba 30 ne Kasagga Robert afunye obugoba 18 baasuumusiddwa okugenda ku mutendera ogguddako, ate Omukadde Kasumba Juliet afunye obugoba 15 awandukidde ku mutendera guno.
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K













