Abagoberezi ba kristu mu masinzizo ag’enjawulo basabidde Ssaabasajja Kabaka n’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’amuwadde kati emyaka 68.
Ssaabasumba Paul Ssemogerere yakulembeddemu ekitambiro ky’emissa eky’okukuza amazuukira ga Yezu Kristu ku lutikko e Lubaga, ekyetabiddwamu Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Ssaabasumba asabye abakkiriza bonna beebaze Omutonzi olwóbulamu bwa Ssabasajja Kabaka era omwogere okumuwa ebirungi
Era Yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okukulemberamu omumuli gw’okukubiriza abantu naddala abasajja okwewala siriimu.
Ssaabasumba mu ngeri ey’enjawulo asabye abantu bonna okulwanyisa obuli bw’enguzi n’obulyake, n’agamba nti ensi yattu Uganda ejjudde obuswavu, olw’abantu abeebitiibwa ate ababba ebintu by’abawejjere.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwábadde yetabye mukitambiro kyémisa ekyamazukira ga Yezu Kristu , asabye buli muntu okwenyigira mulutalo olwókulwanyisa akawuka kamukenenya.
Mu ngeri yemu Katikkiro asabye banna Uganda buli omu okulwana okulwanyisa obulyake enguzi n’obubbi obusukiridde mu ggwanga bwagambye nti bwongedde okufuya eggwanga.
Minister w’ebyenjigiriza ebisookebwaako Jc Muyingo ngéra yakiikiridde Government eyawakati agambye nti beetegefu okulwanyisa obubbi nóbulyake mu ggwanga, nga bakozesa enkola ez’enjawulo.
Ssabakristu Ivan Kalanzi Alozius asabye Government okuwa ekitiibwa enkola yébibiina ebingi baleme kutulugunyanga baludda olugibuganya.#