Club ya Vipers egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League eyimirizza omuzibizi waayo Disan Galiwango ebbanga eritali ggere, olw’ebikolwa ebyekuusa ku busiwuufu bw’empisa.
Disan Galiwango avunanibwa obutetaba mu kutendekebwa kwa ttiimu eno, oluvanyuma lw’obutatekebwa ku ttiimu eyalina okukyalira club ya Simba eya Tanzania mu mpaka za CAF Champions League wiiki 2 eziyise.
Galiwango n’abazannyi abalala abaali batagenda na ttiimu eno e Tanzania, baalina okusigala nga batendekebwa wano ewaka Galiwango kyataatukiriza.
Okuva olwo Galiwango yagobwa ku ttiimu eno era tasobodde kwetaba mu mpaka za Uganda Cup, Vipers bweyali ezannya ne Wakiso Giants, ewamu n’omupiira Vipers bweyabadde ettunka ne Raja Casablanca mu mpaka za CAF Champions League.
Disan Galiwango yegatta ku Vipers ku ntandikwa ya season ya 2020/2021 nga ava mu club ya Express FC mukwano gwabangi.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe