Muweereza munnaffe ku CBS Joshua Musaasizi Nsubuga ayanjuddwa mwana munne Eliva Kiwummulo Origye.
Emikolo gibadde mu maka ga bakadde be e kyalo Kagango ekisangibwa mu Gombolola ye Wakyato mu district ye Nakaseke mu ssaza Bulemeezi.
Omusumba w’ekkanisa y’Abadiventi Peter Nsereko Male asabye abafumbo okukuuma ng’ekitiibwa kyabwe.
Agambye nti okwekwasa omutonzi n’okukuliza abaana mu ddiini, ye mpagi egenda okuyamba eggwanga obutadobonkana.
Ssenkulu wa Radio ya Ssabasajja Omuk Michael Kawooya Mwebe nga akiikiriddwa akulira okubunyisa Radio ya Ssaabasajja mubantu Godfrey Male Busuulwa, yeebazizza omuweereza Joshua Musaasizi Nsubuga olwobukozi, okwaagala ennyo Obwakabaka n’obuntubulamu.
Omukolo guno gwetabiddwako bakozi bangi ddala okuva ku mikutu gy’amawulire egyenjawulo mu ggwanga.
Omusumba Ezekel Origye abasibiridde entanda okugenda batandike amaka amanywevu.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: Kamulegeya Achilleo K