Omujulizi Bruno Sserunkuuma yattibwa nga 3 June,1886.
Yassibwa ffumu, abasajja ba Kabaka Mwanga abaali abakaawu ennyo.
Omujulizi omutuukirivu Bruno Sserunuuma ye muwolereza w’abawanika ensimbi, abakola mu by’ensimbi ne mu Bank.
Bruno Sserunkuuma yali yeddira Ndiga, mutabani weeyali omwami wa Kabaka ow’essaza Buddu Pookino Namujulirwa ne nnyina muzzukulu wa Mugema Ndibaliza.
Sserunkuuma yaweerezebwa mu lubiri lwa Kabaka Muteesa mu 1876 okubeera omu ku bambowa.
Sserunkuuma yoomu ku bambowa, Yosefu Mukasa Balikuddembe beyasooka okuliisa ekigambo okukkiriza Kristu.
Kigambibwa nti Sserunkuuma ono yali wa mbazuulu, omukambwe omuzibu ate nga waddanga!
Sserunkuuma yayagalwa nnyo Kabaka Mwanga olw’obuwulize n’obunyiikivu mu mirimu egyamutumwanga awataalinga kwekwasa nsonga yonna.
Olw’obuwulize n’obukoozi, Kabaka Mwanga yamuwaayo abawala ababoobevu babiri, nabeetwalira okufuuka bakyalabe, era mu bwangu obw’ekitalo omu ku bbo n’afuna olubuto!
Abambowa Kalooli Lwanga ne Andereya Kaggwa baamutuukirira okumubuulira ku kigambo kya Katonda omwali okumulesaawo abakazi ababiri n’okunywa omwenge wabula yeemalize Kristu.
Baamutwala ewa Ppere Mapeera n’amubatiza era n’aleka “eby’ensi”
Kigambibwa nti bwebaali boolekera olw’e Namugongo okuttibwa, omu ku baganda be yamusoomooza ng’amuwa omwenge olw’okuba yali akimanyi nti ayagala nnyo ebbidde, wabula Sserunkuuma yagugaana nti nga yeesigama ku ngeri Yezu gyeyakabirirwamu wabula nakkiriza okufa.
Bwatyo Sserunkuuma obulamu bwe bwonna n’abuwaayo olw’okubeera Yezu!
Bikungaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K