Amawanga 32 gegagenda okuweereza abazannyi n’ababaka mu ggwanga lya Qatar, mu mpaka z’e kikopo ky’ensi yonna eky’omupiira ogw’ebigere ekitandika mu November w’omwaka guno 2022.
Empaka za World Cup zitandika nga 21 November okutuuka nga 18 December.
Amawanga gano gaakutte obululu mu kibuga Doha ekya Qatar.
Mu kibinja A.
mulimu abategesi aba Qatar, Senegal, Budaaki ne Ecuador era nga abategsi aba Qatar bakuggulawo ne Ecuador.
Mu kibinja B.
Mulimu Bungereza, Iran, America ne ttiimu endala enayitawo mukusunsula wakati wa Wales, Scotland ne Ukraine..
Mu kibinja C.
Mulimu Argentina, Mexico, Poland ne Saudi Arabia.
Mu kibinja D.
Mulimu France, Denmark, Tunisia nómuwanguzi wakati Australia, UAE ne Peru.
Mu kibinja E.
Mulimu Spain, Germany, Japan nómuwanguzi wakati wa Costa Rica ne New Zealand.
Mu kibinja F.
Belgium, Croatia, Morocco ne Canada.
Mu kibinja G.
Mulimu Brazil, Serbia, Switzerland ne Cameroon.
Mu kibinja H.
Mulimu Portugal, Ghana, Uruguay ne South Korea.