Ekitongole ky’eby’obulamu munsi yonna ekya World Health Organization, (WHO), nekitakabanira okulwanyisa endwadde mu Africa ekya Africa CDC birangiridde nti mu Uganda muweddemu obulwadde bwa Ebola ekika kya Sudan, obubadde bumaze emyezi 4 nga butadde eggwanga ku bunkenke.
Abantu 4 bebaluguzeemu obulamu, omuli n’omwana omuwere.
Abakulu mu bitongole bino bawanjagidde abakulembeze mu mawanga ga Africa okukwataganiranga awamu okulwanyisa endwadde ssinga ziba zibaludeewo mu ggwanga lyonna ku ttaka ly’olukalu lw’omuddugavu.
Ministry yebyobulamu mu Uganda ekakasizza nti wadde eggwanga kirangiriddwa nti terikyalimu kirwadde kya Ebola, tebagenda kuggyawo oba okuggala ebifo ebibadde byawulibwamu abalwadde ba Ebola, ebimanyiddwa nga Isolation Centers mu malwaliro agenjawulo.
Minister w’ebyeobulamu, Dr Jane Ruth Aceng Ocero, asinzidde ku kisaawe ky’essomero lya Busamagga Primary e Mbale, mu kulangirira nti Uganda tekyalimu bulwadde bwa Ebola.
Okulangirira kuno kuzzeewo oluvanyuma lw’ennaku 42 ezirambikibwa mu Mateeka nga tewali mulwadde mulala azuuliddwa,era nti ekirwadde kimaze ennaku 87 nga kirwanyisibwa okuva lwekyalangirirwa nga 30 January omwaka guno 2025.
Minister Aceng agambye nti ebifo bino bigenda kusigala nga bikozesebwa ng’amatendekero ku ndwadde ez’enjawulo era nti Ebola ssinga anaaba azeemu okubalukawo oba ekirwadde ekirala ekikambwe byakukozesebwa.
Ministry yeebyobulamu kyokka etegeezezza nti ggo amalwaliro agaali gaggalwa, gaakuggulwawo era nti kyakukolebwa mu mitendera eby’enjawulo.
Dr Jane Ruth Aceng Ocero, era asinzidde wano neyennyamira olw’abamu ku banna Uganda abalowooza nti endwadde zino zirangirirwa nekigendererwa ekyokukuηaanya ensimbi mu bitongole eby’enjawulo, mukifo eky’okutaasa obulamu bwabantu.
Agambye nti obulwadde buno bwabayigirizza bingi naddala engeri y’okukikwata nga kibaluseewo mu bibuga era nti baakozesezza obukadde bwa doola 55 okubulwanyisa nga guno gwe mulundi ogwomunaana Uganda okubalukamu ekirwadde kya Ebola.
Asuubizza nti government yaakukola ekisoboka okusasula ensako zaabasawo bonna abayambako mu kawefube ono, newankubadde nti wabaawo obumulumulu obumu obulemesa abantu okusasulwa mu budde.
William Popp, omubaka wa America mu Uganda, asuubizza nti wadde ng’obujjanjabi bwa America mu mawanga amalala buzze busalibwa, beeteefu okwongera okukwasizaako Uganda mu kusoomoozebwa kw’endwadde nga zino enkambwe.