President wa Vipers FC Dr. Lawrence Mulindwa yakkiriza okusaba kw’aboluganda lw’omugenzi Abubakar Lawal, okumuzaayo okuzikibwa ku butaka e Nigeria.
Omulambo gwakutikkibwa ku nnyonyi ku Sunday eno nga 02 March,2025.
DR Lawrence Mulindwa agambye nti bagenda kugutambuza mu miteeko 2, nga waliwo okuva wano mu Uganda okutuuka mu kibuga Lagos ekya Nigeria Lagos.
Kyokka olw’okuba nti okutuuka omugenzi gy’azaalwa e Sokoto nawo wawanvu ddala, era baakupangisa e Nnyonyi okugutuusa e Sokoto.

Wasooseewo okusabira omugenzi mu kisaawe kya St Mary’s Kitende, ewaakuηaanidde abawagizi ba Vipers FC okumukungubagira.
Abubaker Lawal abadde muteebi wa club ya Vipers, yafudde ku Monday nga 24 February,2025 ku myaka 30 egy’obukulu.
Kiteberezebwa nti yavudde ku kizimbe ekya Voice Shopping Mall e Bwebajja nagwa wansi, bwe yali agenze okulaba ku mukwano gwe munnansi wa Tanzania Omary Naima.
Abubaker Lawal yegatta ku club ya Vipers mu 2022 nga ava mu club ya AS Kigali eya Rwanda.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe