Club ya Vipers egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League eyongedde amaanyi mu kwetegekera season ejja eya 2025/26, bwekansizza omuzibizi Ashiraf Mandela kati omulundi ogw’okusatu.
Ashiraf Mandera atadde omukono ku ndagaano ya myaka 3 ng’acangira Vipers endiba, avudde mu club ya Police eya Rwanda.
Mandera ali muyizi ku ssomero lya St Mary’s Kitende, gyeyava okwegatta ku Vipers, wabula mu season ya 2018/19 yegatta ku Villa Jogo Ssalongo.
Wabula oluvanyuma yagendako mu club ya URA gyeyamala ebbanga lya myaka 4, olwo mu 2022 yaddayo mu Vipers nawangula ebikopo bya liigi 2 ne Uganda Cup 1.
Sizoni ewedde eya 2024/25 yabadde ku club ya Police eya Rwanda.
Vipers season ejja egenda kukiikiriraa Uganda mu mpaka za Africa eza CAF Champions League, olw’okuwangula Uganda Premier League season ewedde.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












