Club ya Vipers egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League mu butongole eyanjulidde abawagizi baayo omuzannyi omuggya Usama Arafat gwe bakansizza ku ndagaano ya myaka 3.
Usama Arafat mu kiseera ekiyise abadde talina club oluvanyuma lw’endagaano ye ne club ya KCCA okugwako ku nkomerero ya season ewedde.
KCCA yabadde munjogerezeganya ez’okwongezayo endagaano ya Usama Arafat kyokka enjuyi zombi neziremererwa okukaanya.
Club ya Vipers eyongedde okulaga KCCA amaanyi naddala mu kugitwalako abazannyi ab’embavu, nga yasooka kutwala Allan Okello KCCA kweyali esibidde.
Vipers mu kiseera kino eri South Africa gye yagenda okuzannya ne club ya African Stars eya Namibia mu mpaka za Africa eza CAF Champions League, nga omupiira guno gwakuzanyibwa ku Friday nga 19 September,2025.
Usama Arafat awezeza omuwendo gw’abazannyi 07 Vipers beyaakakansa mu kwetegekera season ejja, era bamuwadde omujoozi number 27.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












