Club y’omupiira Villa Jogo Ssalongo egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League efuumudde omutendesi wa ttiimu eyábaana abato era nga y’abadde avunanyizibwa ku dduyiro ku ttiimu enkulu Phillip Ssozi.
Phillip Ssozi ng’era yaliko omuzannyi wa Villa Jogo, mu kiseera kino abakulu batandise ku mulimu gwókunoonya agenda okumuddira mu bigere ng’oluzannya lwa liigi olwókuddingana terunatandika.
Villa Jogo era ebadde yakagoba eyabadde ttiimu manager Dan Mubiru némusikiza Sulait Makumbi, so ng’era yagoba ne yali ekulira ebyemirimu Brenda Nambalirwa.
Phillip Ssozi ekiseera kyámaze ku club ya Villa, alina ebitone byasitudde okuli Gavin Kizito, Salim Abdallah, Charles Lwanga nabalala.
Phillip Ssozi mu kiseera nga akyali muzannyi wa Villa, yabawangulira ebikopo bya liigi ne Uganda Cup, yazannyirako club ya Express ate era názannyirako ne mu ggwanga lya Serbia.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe