Munnauganda Victor Kiplagat awangudde omudaali gwa Zzaabu mu mpaka z’embiro empanvu ez’abasajja eziyindira mu kibuga Budapest ekya Hungary.
Embiro aziddukidde essaawa 2:08:53.
Kiplagat ayongedde okulaga amaanyi mu muzannyo gw’embiro, ne mu mwaka gwa 2022 mu mpaka z’ensi ezaaliko amatwale ga Bungereza nazo yazifunamu omudaali gwa Zzaabu.#