Ekitongole ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority kyongedde okuyiwa ba mbega ku nsalo ne mu makubo, okwekenneenya abantu ababadde beyongedde okwebalama emisolo, nga bakukusa eby’amaguzi nebiyingira eggwanga.
Kigambibwa nti abakukusa eby’amaguzi abamu bandiba ng’oluusi bekobaana nÁbamu ku bakozimu kitongole ki URA, ssaako naabo abakozesa obukubo obutakkirizibwa mu mateeka nebakukusizaamu eby’amaguzi.
Waliwo emmotoka Prado TX namba UAL 582F ekwatiddwa, nga kigambibwa nti ebadde ekubyeko essimu nébikozesebwa ku ssimu nga biweza box 17, nga bino bibadde biyisiddwa ku nsalo ye Busia Malaba nga tebisasuliddwa musolo.
Omwogezi wa Uganda Revenue Authority Robert Kalumba mu kwoogerako ne CBS , ategeezezza nti URA eyongedde okunyweeza ebyokwerinda ku nsalo zonna awayisibwa eby’amaguzi, n’okuteeka bambega mu makubo okugiyambako okumalawo ebikolwa ebifiiriza eggwanga.
Kalumba ategeezezza nti okukukusa ebyÁmaguzi ebitasasudde musolo kifiiriza eggwanga ebitagambika, songa kiviirako abasuubuzi bangi okunyigirizibwa, kuba tewaba bwenkanya mu nkungaanya ya Musolo ku basuubuzi.
Mmotoka eyazuuliddwamu essimu nÓmugoba waayo baakwasiddwa Police nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis