Obuwumbi bwa shs 19 bwebusuubirwa okusaasaanyizibwa ku mutendera ogwokubiri ogw’okuzimba ekisaawe kye Kyambogo.
Ku mutendera ogwokubiri kuliko okuzimbako ekisaawe kya Basketball ne Tennis, ewamu nékirasha ekigenda okutuuza abantu 5000, ekisenge ky’abasawo, office eziddukanya emirimu nébirala.
Phase eyasoose kwabaddeko okuzimba ekisaawe ewazanyirwa nókutekamu omuddo ogwómutindo, pipe zámazzi ezómulembe okuli n’ezifukirira omuddo ate nókutekamu ebitaala, generator nékikomera nébirala, nga omulimu guno gwamalawo obuwumbi 14.
Okuzimba ebisaawe ebigenda okutendekerwamu ebirala okuli Hoima Booma Grounds, Gulu University, Lira University, Sir Tito Winy Secondary School e Hoima ne Pece Stadium kugenda kumalawo obuwumbi 13 ku buli kisaawe.
,Ekisaawe kya Masindi municipal council stadium kigenda kumalawo obuwumbi.bwa shs 20.
Ebisaawe bino byonna bigenda kutekebwamu omuddo ogwómutindo ddala ng’oguli mu kisaawe kye Namboole, era omulimu gwókuzimba ebisaawe bino gugenda kutwala ebbanga lya myezi 8.
Ekisaawe kya Makerere University kyakuwementa obuwumbi 21, era gyonna gigenda kukolebwa UPDF Engineering Brigade.











