Abajaasi b’eggye lya Uganda erya UPDF 162 bebalindiridde okuwummula obuweereza omwaka guno 2024.
Ku bajaasi bano 162, kuliko 5 abali ku ddaala lya General ,36 baddaala lya Colonel n’abasigadde bali mu madaala ga wansi.
Abateekateeka okuwummula ku mukolo ogusuubirwa okubaawo nga 30 April,2024 kuliko Col. Patrick kiyingi, Col. David Magonge, Lt. Col Fred Genza Ssalongo n’abalala.
Amyuka omwogezi wa updf Col Deo Akiiki asabye abasirikale abagenda okuwummula obutenyigira mu bumenyi bw’amateeka ate n’okusigala nga bawuliziganya ne UPDF singa basanga okusoomozebwa okwengeri zonna.#