Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ki UNRA kibakanye néddimu lyÓkugogola Omugga Kiyira mu kitundu ekya district ye Pakwach, okutaasa olutindo olulumbiddwa ekiddo ekizito.
Ekiddo kigambibwa okuba nga kizitowa nnyo olw’amayengo agakikuba, era nga singa tekigyibwamu mangu kisobola okumenya olutindo lw’e Pakwach.
Olutindo luno lukozesebwa emmotoka ezigenda mu Kibuga Arua nÓkweyongerayo.
Mmotoka zi wetiiye , amaato nébyuuma ebirala bitwaliddwa ku lutindo luno, era waliwo nÁmaato amatonotono agassiddwawo okwerinda embeera eyinza okuva ku kutabanguka kw’amazzi.
Omwogezi wékitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ki UNRA Allan Ssempeebwa, ategeezezza nti bakola ekisoboka okugya ekiddo ku mugga guno, okweewala obubenje obuyinza okuddirira.
Bisakiddwa: Kato Denis