Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ki UNEB kyetaaga obuwumbi bwa shs 22 n,obukadde 840, okukola ku byokuliisa n’okusuza abagolozi b’ebigezo , wabula obuwumbi 16 n’obukadde 320 zezokka ezaatereddwa mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja 2025/2026.
UNEB eyagala okulinnyisa ensimbi ezisasulwa abagolozi bebigezi bya primary, kyagala ensimbi zino zirinyisibwe okuva ku shillings 1,010 buli lupapula olwa PLE okutuuka ku shillings 1,263 buli lupapula.
Olupapula lwa Senior eyokuna, UNEB eyagala ensimbi ezokugolola olupapula olumu, zirinyisibwe okuva ku shillings 1200 eziriwo kati okutuuka ku shillings 1500 buli lupapula.
Okugololola ebigezo bya senior eyomukaaga, Uneb nate eyagala okulinyisa ensimbi ezigolola buli lupapula okuva ku shillings 1,435 okutuuka ku shillings 1,794.
Mu kiseera lino, okugolola olupapula lwekigezo kya PLE buli lupapula uneb erusasula shillings 1,010 , olwa senior eyokuna lusasulwa shillings 1200 songa olwa senior eyomukaaga, lusasulwa shillings 1435
Alipoota ekoleddwa akakiiko ka parliament akalondoola ebyenjigiriza n’emizannyo akabadde kakeneenya embalirira y’ebyenjigiriza, eyanokoddeyo kalonda ono, esabye ministry yebyensimbi okunoonya ensimbi obuwumbi 10 zongerwe ekitongole ki UNEB mu mbalirira yomwaka ogujjya 2025/2026.
Kuliko obuwumbi 6 n’obukadde 520 ezokwongeza ebisale ebiweebwa abagolozi bebigezo okulya n’okusula mu kiseera kyokugolola ebigezi, saako obuwumbi 4 nobukadde 800 okukola ku nteekateeka yokwongeza ensimbi ezisasulwa buli lupapula olugololwa.#