Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo ki UNEB, kifulumizza ebinaagobererwa abayizi abagenda okukola ebigezo eby’akamalirizo eby`omwaka guno 2024 ku mitendera gyonna 3.
Kuliko abayizi abagenda okutuula ebibuuzo okuli PLE, UCE ne UACE, nga kumutendera gwa senior ey’okuna abayizi bakutuula ebigezo by’amiteeko ebiri mu Curriculum enkadde n’Empya.
Ku mutendera gwa S.4 abakola Curriculum empya bakutandika n’olupapula lw’okubala olusooka ku makya olw’eggulo bakole olupapula lwa Chemistry olupapula olusooka.
Ate abakola Curriculum enkadde kw’olwo baakutandikira mu lupapula lwa Chemistry olw’obwoleke, olw’eggulo bakukola Music.
Abayizi abagenda okutuula ebigezo by’omwaka guno omugatte bali 1,320,400, era nga bano beeyongeddeko n’ebitundu 8% bwogerageranya n’abatuula eby’omwaka oguwedde 2023 abaali 1,224,371.
Abayizi abawala bebasinga obungi, bakola ebitundu 51%, ate abalenzi bakola ebitundu 49%.
Abayizi abagenda okukola ebigezo bya P.7 bali 798,763, bano beeyongeddeko ebitundu 6.6% bwogerageranya naabo 749,371 abatula ebyomwaka oguwedde 2023.
Mu S.4 abayizi bali 379,620 nga ku bano abayizi 369,477 bebagenda kutula ebigezo ebya Curriculum empya ate aba Curriculum enkadde bali 10,143.
Abagenda okutuula ebya S.6 bali 142,017, nga beyongeddeko n’ebitundu 28% bwogerageranya nabatuula eby’omwaka oguwedde 2023 baali 110,579.
Abayizi abaliko obulemu bali 4,498, abasibe bali 108, nga kubano abalenzi bali 107 n’omuwala omu.
UNEB egamba nti abayizi aba S.4 abali ku Curriculum empya bagenda kukola ebibuuzo okuva mu masomo 36, ate mu nkola enkadde bagenda okutuula ebibuuzo okuva mu masomo 46.
Ennimi enzalirwana abayizi zebagenda okutuula mulimu Oluganda, olusoga, Rutoro, Runyakole, Rukiga, Oluteso, Olulango, Olucholi, Lumasaba, olulimi lw’obubonero, nendala.
Ennimi engwira kuliko olujamani, Oluwalabu, Oli-China, Olulatin, Olufalansa, nendala.
Ssenkulu wa UNEB, Daniel Odongo, aambazze ebibadde byogerwa nti UNEB, yayisiza ekiragiro ekigaana aba Boda boda okutambuza ebigezo nga bitwalibwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Bisakiddwa: Musisi John