Kampuni y’amasanyalaze eya Umeme mu butongole ewaddeyo obuvunaanyibwa bw’okuddukanya eby’amasannyalaze mu Uganda, bukwasiddwa ekitongole kya government ki Uganda Electricity Distribution Company Ltd.
Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Umeme Patrick Bitature agambye nti Umeme ekoze bulungi obuvunaanyizibwa obwajikwasibwa nga 01 February,2005.
Agambye nti mu kiseera ekyo abantu emitwalo 250,000 bebaali bakozesa amasannyalaze, webaviiridde mu buweereza buno ng’abantu obukadde bubiri n’emitwalo 20, nga bebakozesa amasannyalaze.
Agambye nti mu ngeri yeemu basobodde okuwa obukugu obwetaagisa eri abakozi baabwe bebabadde bakozesa, era ebitundu 80% ku bakozi abo baamaze okusunsulwa okwegatta ku kitongole kya Uganda Electricity Distribution Company Ltd (UEDCL).
Ssenkulu wa UEDCL Paul Mwesigwa agambye nti betegefu okukola omulimu omulungi nga bakozesa obukugu obwenjawulo, era ng’abakozi 2995 bebawandiisiddaa okukola omulimu.

Ebyo nga biri bityo, Ememe ewakanyizza omutemwa gw’ensismbi government gweyagiwadde okusigaza ebyuma byayo, oluvanyuma lwa Kontulakita yaayo okugwako.
Umeme yali yasaba government obuwumbi bwa Uganda 856 bwebukadde bwa ddoola za America 234, wabula nga government esibidde ku buwumbi 700 bweyali eteekateka okuwa Umeme.
Wabula Ssaababalirizi w’ebitabo bya government Edward Akol byonna yabijungulula, bweyafulumya alipoota ku mbalirira gyeyakola nga bibalirirwamu obuwumbi 432.
Oluvannyuma lwa alipoota eno, government ng’eyita mu minister w’amasanyalaze Canon Ruth Nankabirwa yategeeza nti government erina kusasula ensimbi obuwumbi 432 eri Umeme ng’omubalirizi w’ebitabo bya government bweyalambise.
Mu kiwandiiko Umeme kyefulumizza agambye nti ensimbi obuwumbi 432 bwebukadde bwa ddoola 118 nti wadde yazifunye wabula tekaanya nazo.
Mu kiwandiiko kino, Umeme egambye nti government yagikase okuwaayo obuvunanyizibwa nayo kyeyakoze, wabula omuwendo gw’ensimbi ezaasasuddwa ntono era government yategezeddwako, era egenda kwekubira enduulu mu butongole ng’amateeka bwegalagira.
Mu ndagaano ey’emyaka 20 government ya Uganda gyeyakola ne Umeme, singa balemererwa okukkaanya mu buntu, emisango girina kuwolezebwa mu kkooti ze London mu Bungereza sso ssi wano mu Uganda.#