Ekibiina ekitwala emizannyo gya Olympics mu Uganda ekya Uganda Olympics Committee kitongozza enteekateeka ey’ennaku 100 ezibulayo okutuuka ku mpaka z’ensi yonna eza Olympic Games ezigenda okubeera mu kibuga Paris ekya Bufalansa.
Enteekateeka ey’ennaku 100 ezibulayo okutuuka ku Olympics etongozeddwa e Lugogo mu Kampala, nga omukolo guno gwetabiddwako omubaka wa France mu Uganda HE Xavier Sticker, minister omubeezi ow’ebyemizannyo mu Uganda Peter Ogwanga, abakulembeze na National Council of Sports, William Blick owa International Olympics Committee nabalala.
Guno gugenda kubeera mulundi gwa 17 nga Uganda ekiika mu mpaka za Olympics era nga yasooka kukiika mu mpaka za 1956.
Moses Mwase agenda okukulemberamu ttiimu ya Uganda egenda kukiika mu mpaka za Olympics Paris 2024, agambye nti bakakasa abazannyi 21 abagenda okuvuganya mu mpaka zino ku muwendo gw’abazannyi 25 abaakiika mu mpaka ezasembayo e Tokyo Japan, era nga bakyasubira abazannyi abalala okuva mu muzannyo gwa Badminton, ebikonde ne Rugby.
President wa Uganda Olympics Committee Dr. Donald Rukare, agambye nti bagenda kukola ekisoboka okulaba nga Uganda ebaako emidaali gy’ewangula mu mpaka zino era yabazizza bonna bannamukago ababakwatiddeko mu nteekateeka eno.
Minister Peter Ogwanga, asinzidde ku mukolo guno naakakasa nti ekisaawe kya baddusi ekya Teryet High Attitude Training Center e Kapchorwa ekigenda okukozesebwanga abaddusi kiwedde era kisuubirwa okuggulwawo essaawa yonna.
Uganda yakawangula emidaali 11 mu mpaka za Olympics nga gyonna egiwangudde mu muzannyo gw’ebikonde n’emisinde, nga kuno kuliko zaabu 4, feeza 4 n’egyekikomo 3.
Omuddusi John Aki Bua yeyasooka okuwangulira Uganda omudaali mu mpaka zino nga gwali gwa zaabu e Germany mu 1972.
Emizannyo gya Olympics e Paris mu Bufalansa gigenda kubeerawo nga 26 July okutuuka nga 11 August 2024.
Bisakiddwa; Isah Kimbugwe