Akakiiko akalondoola eby’obulamu mu ggwanga aka Uganda Medical and Dental Practitioners Council, (UMDPC), kasazeewo okujulira mu kooti ensukkulumu, nga kawakanya ensala ya kooti enkulu mu musango ogwakasingisiddwa ku nsonga y’abayizi ba King Ceasor Universiy, abasoma obusawo abagambibwa okuba ab’ekiboggwe.
Kkooti enkulu yasingisa akakiiko kano wamu ne ministry y’ebyobulamu, omusango ogwabawabirwa abamu ku bayizi abasoma obusawo ku King Ceasor University, olwobutabakkiriza kugenda mu malwaliro okugezesebwa okukola obusawo, (Internship).
Abayizi n’abakulu mu University baddukira mu mbuga nga bagamba nti Uganda Medical and Dental Practitioners Council (UMDPC), okubagaana okugenda mu malwaliro okugezesebwa nga keekwasa nti baali baakiboggwe nti kaakikola mu bukyamu.
Akakiiko ne ministry y’eby’obulamu bagamba nti ssetendekero wa King Ceasor talina basomesa bakugu era abamala okusomesa amasomo g’obusawo, era nti abayizi baayo baalina okusooka okukolako ekigezo ky’okugezesebwa nga tebanaba kugenda buterereevu mu Internship.
Kooti wabula omusango yagusingisizza akakiiko obutakola buvunanyizibwa bwako kimala,era nti abayizi tebalina musango kuba baasoma mu ssetendekero omutuufu era alina olukusa okusomesa amasomo g’obusawo.
Prof Joel Okullo Odom, ssentebe w’akakiiko ka Uganda Medical and Dental Practitioners Council, (UMDPC), agambye nti bagenda mu kooti ejulirwamu ku nsonga eno ekyuse ensala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis