Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabazannyi abatasusa myaka 20 eya Uganda Hippos, Matia Lule, alangiridde omuzannyi Toto Majub, ku bwa captain bwa ttiimu wakati mu kwetegekera empaka za Africa Cup of Nations qualifiers eza zone ya Cecafa.
Omuzibizi Toto Majub ku bwa captain buno agenda kumyukibwa omuwuwutanyi John Innocent Kisolo.
Mu kiseera kino ttiimu eno eri mu nkambi ku FUFA Technical Center e Njeru mu kwetegekera empaka zino.
Empaka zino zigenda kubeerewo okuva nga 06 okutuuka nga 20 October, mu kibuga Dar El Salaam ekya Tanzania.
Uganda Hippos mu mpaka zino baagiteeka mu kibinja B ne South Sudan, Burundi ne Ethiopia, era FUFA yayita ttiimu yabazannyi 45 okwetegekera empaka zino.
Ate ekibinja A mulimu abategesi aba Tanzania, Kenya, Sudan, Rwanda ne Djibouti.
Ekitundu kino ekya Cecafa kiri ku muyiggo gwa ttiimu 2 ezinaakikikirira mu mpaka za Africa Cup of Nations U20 ez’omwaka ogujja 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe