Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabazannyi abatasussa myaka 20 eya Uganda Hippos, yesozze omutendera gwa semifinal mu mpaka za Africa Cup of Nations Cecafa Zonal qualifiers eza U20 bw’ekubye Burundi goolo 4-1.
Empaka zino ziyindira mu kibuga Dar El Salaam ekya Tanzania.
Goolo eziwadde Uganda obuwanguzi ziteebeddwa Dembe John Paul, ate endala zibadde za kyeteeba.
Uganda Hippos okwesogga semifinal ewangudde emipiira 2 egy’okuddingana, nga yasooka kukuba Ethiopia goolo 3-0.
Kati Uganda esigazza omupiira gumu mu kibinja era yakuzannya ne South Sudan.